Emboozi ya Senga

Ensonga 4 lwaki omwagalwa wo akulema okusanyusa mu bulili

SENGA NAKYAGABA

Obulamu buno mukama katonda bweyatuwa, bulimu ebirungi bingi ntoko. Era, buli muntu yamanyi engeri gyaafuba okulaba nga anogako ku makoola gensi eno era neyesanyusaamu.

Abasinga essanyu lyaabwe balijja mu kunywa ku mwenge nebitamiiza ebilala, abalala bagula emmotoka kapyaata nebavulumula, ate abandi bagenda ku mbalama zenyanja wamma nebawuga nokufuuyibwa ku mpewo zaayo.

Ebintu ebyo byonna bisanyusa obulamu era nebukakkana, naye tewari kisanyusa bulamu nga kaboozi ka kikulu, era tewari muntu yali avuddeyo nalangirira nga bwakavuddeko mubutongole nga abangi bwebava ku mwenge, okuwuga oba emmotoka.

Kaakati munange nga bwekiri nti akaboozi kabuli omu, tekasosola mukadde namuto, wamma kankubuulire engeri gyoyinza okukachangamu, nemunno natuuka ku ntikko ya Rwenzori.

1. OBUYONJO

Tewari muntu ayagala bintu bikyaafu oba ebiwunya obubi ate nga omukwano gufugibwa bwongo , nolweekyo bwooba oyagala owoomerwe akaboozi sooka onaabeko bulungi, essowani oziyonje wamma nemunno agende okukutuukako nga oli ku muzuuri.

Awo ajja kwesumulula bulungi era ppata zonna zijja kusumulukuka.

Bwaba mukyaala, alyooke akuyiire amazzi.

2. LOMANSI ( Okunonya)

Nebwooba olina amaddu agenkana agempisi, togeza nofubutuka bufutusi okuyingira munno nga tomukoze kuka lomansi.

Akantu kakulu nnyo nti munno ogenda okutuuka okumujjula, wamma nga yayidde dda.

Abakugu bagamba nti ka lomansi kasaana okukolebwa wakati wedaakika 10-20.

3. TEGEERA MUNNO

Eno ensonga nkulu nnyo mukwegatta, abasinga tebasooka kukola lisaachi kubannabwe era nekibaleetera okulemererwa okutuusa banabwe ku kuwoomerwa.

Munno twaala obudde omutegeere ebimunyumira, nebitamunyumira.

Okugeza, abakyaala abamu banyumirwa nnyo okubakalakata sipiidi, ate abalala baagala slow dancing.

Abaami abamu balina obusekuzo butono oba bumpi ate abalala balina ziri zi mangweeno ezalagirwa.

Nolwekyo, okumanya munno kikulu mu mukwaano.

4. OBWAAGAZI ( MOOD)

Abantu abasinga naddala abakyaala balowooza nti buli kadde omusajja aba ayagala okwegatta era womuweela aliirawo. Nedda ekyo sikituufu, kizibu nnyo omusajja okubeera omukambwe mu bulili singa sente ziba zaamubuze, nga munyiivu oba nga alina ebitabula.

Wano kyova olaba nga abasinga basooka nebagendako mu baala nebanywa ku mwenge , negubeerabiza ebizibu ebimu era ebwongo nebabussa ku kuwalampa gologoosa.

Kubakyaala, singa omwami akuwa ku sente oba namusuubiza okumukolera ebintu ebilungi… haaaa mwana muwala ayinza okukunyenyeza ekiwato nakilako enje.

Related Posts

1 of 77

Leave A Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Fortbet
Fortbet